Deuteronomy 25:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago abakadde bamutumyanga ne bamubuuza. Bw'agugubanga nti: ‘Saagala kumuwasa,’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze abakulu b’omu kibuga banaayitanga omusajja oyo ne boogera naye. Bw’anaakakanyalanga n’agamba nti, “Saagala kumuwasa,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale abakadde b'omu kibuga kyabwe banaamuyitanga ne bamubuuza, bw'anaakakasanga nti, ‘Ssaagala kumuwasa,’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze b'ekibuga banaamuyitanga ne boogera naye. Bw'anaakakasanga n'agamba nti: ‘Ssaagala kumuwasa,’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale abakadde b'omu kibuga kyabwe bamuyitenga, bamugambe; kale bw'anaayimiriranga n'ayogera nti Saagala kumuwasa;