Deuteronomy 25:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nnamwandu wa muganda we asemberanga gy'ali nga n'abakadde weebali, n'amwambulamu engatto mu kigere kye ekimu, n'amuwandira amalusu mu maaso nga bw'agamba nti: ‘Kino kye bakola omuntu atayagala kusibusa zzadde lya muganda we.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale, nnamwandu wa muganda we anaatambulanga n’alaga awali omusajja oyo mu maaso g’abakulembeze abakulu b’omu kibuga, anaamwambulangamu engatto mu kigere kye ekimu, era anaamuwandiranga amalusu mu maaso n’ayogera nti, “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku musajja atazimba lunyiriri lwa luggya lwa muganda we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnamwandu wa muganda we anajjanga w'ali mu maaso g'abakadde, n'amunaanulamu engatto mu kigere ekimu, n'amuwandira amalusu mu maaso, ng'agamba nti, ‘Omusajja agaana okuzaalira muganda we omusika, bw'atyo bw'ayisibwa!’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nnamwandu wa muganda we anajjanga w'ali mu maaso g'abakulembeze, n'amunaanulamu engatto mu kigere ekimu, n'amufujjira amalusu mu maaso, n'amugamba nti: ‘Omusajja agaana okuzaalira muganda we omusika, bw'atyo bw'ayisibwa!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale mukazi wa muganda we ajjenga gy'ali mu maaso g'abakadde, anaanule engatto mu kigere kye, awande amalusu mu maaso ge; addemu ayogere nti Bwe kityo bwe kinaakolerwanga,omusajja atazimba nnyumba ya muganda we.