Deuteronomy 26:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'oyingiranga mu nsi Omukama Katonda wo gy'alikuwa ng'obusika, ng'omaze okugitwala n'ogibeeramu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olulituuka bw’omalanga okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’omaze okugyefunira era ng’otebenkedde bulungi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe mulimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, era nga mukkalidde;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mulimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, ne mugyefuga era ne mukkalira mu yo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka, bw'oliba ng'oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika, n'ogirya, n'otuula omwo;