Deuteronomy 26:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzuuno kati, Mukama, ndeeta ebisooka eby'ebibala by'ettaka bye wampa.’ “Ekisero okissanga awo mu maaso g'Omukama Katonda wo, oluvannyuma n'ovunnama mu maaso g'Omukama Katonda wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo ndeese gy’oli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka ery’omu nsi gy’ompadde, Ayi Mukama.” Olibiteeka mu maaso ga Mukama Katonda wo n’ovuunama mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano nzuuno ndeese bye nsoose okukungula mu ttaka lye wampa ayi Mukama.’ ” “Awo anaabiteekanga mu maaso ga Mukama Katonda we, n'amusinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano nzuuno ndeese bye nsoose okukungula mu ttaka lye wampa ayi Mukama.’ “Onoobiteekanga mu maaso ga Mukama Katonda wo, n'omusinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano, laba, ndeese ebibereberye eby'oku bibala by'ettaka, ly'ompadde ggwe, ai Mukama. Era olibiteeka wansi mu maaso ga Mukama Katonda wo n'osinza mu maaso ga Mukama Katonda wo: