Deuteronomy 26:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ojagulizanga mu birungi byonna Omukama Katonda wo by'aliba akuwadde, ggwe n'amaka go, n'Abaleevi, n'abagwira abali mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno, ggwe awamu n’Abaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ng’osanyukira ebirungi byonna, Mukama Katonda wo by’anaabanga akuwadde ggwe n’amaka go gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onoosanyukanga olw'ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe, n'ab'omunnyumba yo, n'Abaleevi era ne bannamawanga ababeera nammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onoosanyukanga olw'ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe, n'ab'omu maka go, n'Abaleevi era n'abagwira ababeera mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olisanyukira ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe n'ennyumba yo, ggwe n'Omuleevi ne munnaggwanga ali wakati wo.