Deuteronomy 26:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'omalanga okuggyako ekyekkumi eky'ebibala byo byonna mu mwaka ogwokusatu, omwaka ogw'ekyekkumi, okiwanga Omuleevi, omugwira, mulekwa, ne nnamwandu, baliire eyo mu bibuga byo bakkute.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogwokusatu bw’onoomalanga okuggyako ku makungula go ekitundu eky’ekkumi n’okissa wabbali, kubanga ogwo gwe mwaka ogw’ekitundu eky’ekkumi, onoddiranga ekitundu ekyo n’okiwa Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, ne baliiranga mu bibuga byo ne bakkuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Buli mwaka ogwokusatu munaatoolanga ekimu eky'ekkumi eky'ebikungulwa byonna eby'omwaka ogwo, ne mukiwa Abaleevi, bannamawanga, bamulekwa, ne bannamwandu bakiriire mu nnyumba zammwe bakkute;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli mwaka ogwokusatu, muneesoloozangamu ekitundu kimu eky'ekkumi ekya byonna bye mukungudde mu mwaka ogwo ogusoloolezebwamu ekitundu ekyo eky'ekkumi, ne mukiwa Abaleevi, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nabo baliirenga mu bibuga byammwe bakkute.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onoomalanga okusolooza ekitundu eky'ekkumi eky'ekyengera kyo kyonna mu mwaka ogw'okusatu, gwe mwaka ogusoloolezebwamu ekitundu eky'ekkumi, n'olyoka okiwa Omuleevi, ne munnaggwanga, n'atalina kitaawe, ne nnamwandu, baliire munda w'enzigi zo bakkute;