Deuteronomy 26:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo n'oyogera bw'oti mu maaso g'Omukama Katonda wo: ‘Ekitundu ekitukuvu nkiggye mu nnyumba yange ne nkiwa Omuleevi, omugwira, mulekwa ne nnamwandu okusinziira ku biragiro byo byonna nga bwe wandagira. Saava ku biragiro byo era saabyerabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Ekitundu ekimu eky’ekkumi ekyatukuzibwa nkiggyayo mu maka gange ne nkigabira Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga byonna bye wandagira bwe biri. Sikyamyeko kuva ku biragiro byo newaakubadde okwerabira n’ekimu ku byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, ‘Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu nnyumba yange, era mbiwadde Abaleevi, bannamawanga, bamulekwa, ne bannamwandu; ng'ekiragiro kyo kyonna bwe kiri kye wandagira, sirina kye nsobezzaako oba kye nneerabidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo onooyogereranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti: ‘Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu maka gange, era mbiwadde Abaleevi, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga bwe wandagira okukola. Tewali kiragiro kyo na kimu kye nsobezza, wadde kye neerabidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu nnyumba yange; era mbiwadde Omuleevi, ne munnaggwanga, n'atalina kitaawe, ne nnamwandu, ng'ekiragiro kyo kyonna bwe kiri kye wandagira: sisobezza ku biragiro byonna kimu, so sibyerabidde: