Deuteronomy 26:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku byo saalina kye nalyako nga ndi mu kukungubaga, mpaawo kye naggyako nga siri mulongoofu, saalina ku kyo na kimu kye nawa mufu. Nawulira eddoboozi ly'Omukama Katonda wange, byonna ne mbituusanga nga bwe wandagira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu ekyo sikiriddeeko nga ndi mu biseera eby’okukungubaga, wadde okukikwatako nga siri mulongoofu, era sikitoddeeko ne mpaayo eri abafu. Ŋŋondedde Mukama Katonda wange, ne nkola nga bwe yandagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mukukungubaga kwange sikiryangako, so sikiggyanga mu nnyumba yange mu nnaku zange ez'obutali bulongoofu era sikiwongerangako bafu, naye ŋŋondedde eddoboozi lya Mukama Katonda wange, ne nkola byonna bye wandagira nga bwe biri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali kimu kya kkumi kye ndidde nga ndi mu kukungubaga, oba okukiggya we kibadde nga siri mulongoofu, wadde okubaako kye mpaayo eri emizimu. Mpulidde by'ogamba, ayi Mukama Katonda wange, ntuukirizza byonna bye wandagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
sikiryangako nga nkyali mu nnaku zange, so sikiterekangako nga siri mulongoofu, so sikiwangako olw'abafu: nnawulira eddoboozi lya Mukama Katonda wange, nkoze nga byonna bwe biri bye wandagira.