Deuteronomy 26:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yima mu ggulu, otunule wansi ku maka go amatukuvu, owe omukisa abantu bo Yisirayeli n'ensi gye watuwa nga bwe walayirira bajjajjaffe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Otutunuulire ng’osinziira mu kifo kyo ekitukuvu gy’obeera mu ggulu, otuyiweko omukisa gwo ffe abantu bo Abayisirayiri n’ensi gy’otuwadde nga bwe walayirira bajjajjaffe, nga y’ensi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale tunula ng'osiinziira mu ggulu, mu kifo kyo ekitukuvu mw'otuula, ow'e omukisa abantu bo Isiraeri, n'ettaka ly'otuwadde, nga bwe wasuubiza bajjajjaffe okutuwa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tunula ng'osinziira mu ggulu mu kifo kyo ekitukuvu, owe omukisa abantu bo Abayisirayeli, n'ensi engimu era engagga gy'otuwadde, nga bwe walayirira bajjajjaffe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunula ng'oyima mu kifo kyo ekitukuvu mw'otuula, mu ggulu, owe omukisa abantu bo Isiraeri, n'ettaka ly'otuwadde, nga bwe walayirira bajjajja baffe, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.