Deuteronomy 26:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naawe olwa leero olonze Omukama abeere Katonda wo, n'olagaanya okutambulira mu makubo ge, okukwata amateeka ge, ebiragiro bye n'ennamula ye, n'okumuwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku lwa leero oyatudde nga Mukama bw’ali Katonda wo, era nga naawe bw’onootambuliranga mu makubo ge, era ng’onookuumanga ebiragiro bye n’amateeka ge gonna, era ng’onoomugonderanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyatudde leero Mukama nga ye Katonda wo, era ng'onootambuliranga mu makubo ge, ne weekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye n'ogonderanga eddoboozi lye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukakasizza olwaleero nga Mukama ye Katonda wammwe, era nga munaamuwuliranga ne mukuuma amateeka ge n'ebiragiro bye, ne by'abakuutira byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyatudde leero Mukama nga ye Katonda wo, era ng'onootambuliranga mu makubo ge, ne weekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye n'emisango gye; n'owuliranga eddoboozi lye: