Deuteronomy 26:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ajja kukuyitimusa mu kitiibwa, mu ttutumu ne mu bukulu okusinga amawanga gonna ge yakola. Olibeera ggwanga ttukuvu eri Omukama Katonda wo, nga bwe yayogera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alangiridde nga bw’anaakujjuzanga ettendo n’okwatiikirira n’ekitiibwa okusukkirira amawanga gonna ge yatonda, era ng’olibeera eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yasuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna ge yakola, olyoke oweese erinnya lye ekitiibwa n'ettendo; era on'obeerenga eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yayogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
alyoke abakuze okusinga amawanga amalala gonna ge yatonda, mugasinge ettendo n'ettutumu n'ekitiibwa, era mubeererenga ddala ggwanga lya Mukama nga bwe yagamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era akugulumizenga okusinga amawanga gonna ge yakola, olw'ettendo n'olw'erinnya n'olw'ekitiibwa; era obeerenga eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo; nga bwe yayogera.