Deuteronomy 26:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oddiranga ku bibala ebisooka eby'ebibala byonna eby'ettaka lyo by'obanga okungudde mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa, n'obissa mu kisero n'obitwala mu kifo Omukama Katonda wo ky'alibanga alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oddiranga ebimu ku bibala ebibereberye by’oliggya mu makungula agalisooka okuva mu ttaka ery’oku nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kibbo. Kale nno obireetanga mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu anaatoolanga ku bibereberye by'ebibala byonna eby'ettaka, by'aliggya mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawadde; n'abiteeka mu kibbo, n'abitwala mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okumusinzizangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
buli omu mu mmwe anaateekanga mu kibbo ekitundu ekisooka okukungulwa, eky'ebirime bye byonna by'anaabanga alimye mu nsi eyo Mukama Katonda wammwe gy'abawa, n'akitwala mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olitoola ku bibereberye by'ebibala byonna eby'ettaka, by'oliggya mu nsi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa: n'obiteeka mu kibbo, n'ogenda mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.