Deuteronomy 26:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ogenda eri kabona abeerangawo mu budde obwo n'omugamba nti: ‘Olwa leero njatula mu maaso g'Omukama Katonda wo nti nnyingidde mu nsi gye yalayirira bajjajjaffe nti aligituwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogambanga kabona alibeera mu kisanja mu kiseera ekyo nti, “Njatula leero eri Mukama Katonda wo nti ntuuse mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aligenda eri kabona alibaawo mu kiseera ekyo, n'amugamba nti, ‘Kaakano nkakasa Mukama Katonda wange nti nnyingidde mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaagendanga eri kabona anaabanga ku mulimu mu kiseera ekyo, n'agamba nti: ‘Kaakano njatulira Mukama Katonda wo nti nnyingidde mu nsi, Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okutuwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olijja eri kabona alibaawo mu biro ebyo, n’omugamba nti Njatulidde leero Mukama Katonda wo: nga nnyingidde mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baffe okugituwa.