Deuteronomy 26:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kabona agenda kuggya ekisero mu mikono gyo akisse mu maaso g'omwaliiro gw'Omukama Katonda wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona aliggya ekibbo mu mikono gyo n’akitereeza mu maaso g’ekyoto kya Mukama Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kabona aliggya ekibbo mu mikono gye, n'akissa wansi mu maaso g'ekyoto kya Mukama Katonda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kabona anaggyanga ekibbo mu mikono gyo, n'akissa wansi mu maaso ga alutaari ya Mukama Katonda wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kabona alitoola ekibbo ng'akiggya mu mukono gwo; n’akissa wansi mu maaso g'ekyoto kya Mukama Katonda wo.