Deuteronomy 26:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo olyatula mu maaso g'Omukama Katonda wo nti: ‘Kitange yali Mwaramu, mubungeese; yakkirira mu Misiri, n'abantu batono, n'afuuka eggwanga ddene, ery'amaanyi, ery'abantu abangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno oliyatula mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Jjajjaffe yali mutambuze Omusuuli, n’aserengeta mu Misiri n’abantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu ery’amaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye aliddamu n'ayogera mu maaso ga Mukama Katonda we nti, ‘Bajjajjaffe Abasuuli baali batambuze era abagenyi mu Misiri, bwe batuula eyo, abaali abatono ne bayala, ne bafuuka eggwanga eddene ery'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ggwe onooyogereranga ebigambo bino mu maaso ga Mukama Katonda wo nti: ‘Jjajjange yali Mwarameeya omubungeese. Yaserengeta e Misiri n'abeera eyo n'ab'omu maka ge, abataali bangi. Baayalira eyo, ne bafuuka eggwanga eddene ery'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe oliddamu n'oyogera mu maaso ga Mukama Katonda wo nti Omusuuli eyali ng'anaatera okubula ye yali kitange, n'aserengeta mu Misiri, n'atuula omwo, omuwendo gwe nga mutono; n'afuuka eyo eggwanga, eddene, ery'amaanyi, eryayala.