Deuteronomy 26:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye twakoowoola Omukama Katonda wa bajjajjaffe, n'awulira omulanga gwaffe, n'alaba obunaku bwaffe, okutegana kwaffe n'okunyigirizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe tutyo ne tukaabirira Mukama, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda n’awulira eddoboozi lyaffe, n’alaba okubonaabona kwaffe, n’okutegana kwaffe, n’okunyigirizibwa kwaffe kwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajjaffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe, n'okutegana kwaffe, n'okujoogebwa kwaffe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajjaffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe n'okutegana kwaffe, n'okunyigirizibwa kwaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajja baffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe, n'okutegana kwaffe, n'okujoogebwa kwaffe: