Deuteronomy 26:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'atuggya mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole, n'entiisa nnene n'obubonero n'ebikuuno.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Mukama n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola, n’obuyinza bwe obw’entiisa, n’obubonero, n’ebyamagero eby’ekitalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'atuggya mu Misiri n'omukono gwe ogw'amaanyi ogwagololwa, n'entiisa ennyingi, n'obubonero n'eby'amagero;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'atuggya mu Misiri ng'akozesa obuyinza obungi n'amaanyi n'obuyinza, era ng'akola ebyewuunyo n'ebyamagero n'eby'entiisa ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'atuggya mu Misiri n’engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa, n'entiisa ennyingi, n'obubonero n'eby'amagero: