Deuteronomy 27:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe mumalanga okusomoka Yorudani, bano bayimiriranga ku lusozi Gerizimu okuwa abantu omukisa: ab'omu bika bya Simewoni, Leevi, Yuda, Yissakari, Yozefu ne Benyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Gerizimu ne basabira abantu omukisa: Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe mulisomoka Yoludaani, Ebika bino bye biriyimirira ku lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa: ekya Simyoni, ekya Leevi, ekya Yuda, ekya Isakaali, ekya Yusufu n'ekya Benyamini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mulimala okusomoka Omugga Yorudaani, ab'Ebika bino: ekya Simyoni, n'ekya Leevi, n'ekya Yuda, n'ekya Yissakaari, n'ekya Yosefu, n'ekya Benyamiini, be baliyimirira ku Lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bano be baliyimirira ku lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa nga mumaze okusomoka Yoludaani; Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini: