Deuteronomy 27:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Avumirirwe oyo akola ekifaananyi ekyole oba ekisaanuuse ekya lubaale, Omukama kye yeenyinyala, omulimu gw'emikono gy'omuwoozi oba omuweesi, n'akiwaŋŋamya mu nkiso. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna Mukama ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Omuntu akola ekifaananyi ekyole, ekibajje oba ekisaanuuse, eky'omuzizo eri Mukama, n'akiteekawo n'akisinza akolimirwe.’ ” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Omuntu akola ekifaananyi ekyole, oba ekibajje, oba ekikolebwa mu bintu ebisaanuuse Mukama ky'akyayira ddala, n'akiteekawo mu kyama, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akolimirwe omuntu akola ekifaananyi ekyole oba ekifumbe, eky'omuzizo eri Mukama; omulimu gw'engalo z'omukozi, n'akisimba mu kyama. Abantu bonna ne baddamu ne bagamba nti Amiina.