Deuteronomy 27:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Avumirirwe asembezangayo ejjinja ly'ensalo za muliraanwa we. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuntu ajjulula ensalo ya muliraanwa we, akolimire.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Buli ajjulula ensalo z'ekibanja kya muliraanwa we, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akolimirwe oyo ajjulula ensalo ya muliraanwa we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.