Deuteronomy 27:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Avumirirwe asaliriza omugwira, mulekwa ne nnamwandu. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuntu asaliriza munnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Buli akyamya ensala y'omusango gw'omugwira ne mulekwa ne nnamwandu, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akolimirwe oyo akyamya ensonga eya munnaggwanga n'atalina kitaawe ne nnamwandu. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.