Deuteronomy 27:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mulimala okusomoka Yorudani ne mutuuka mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa, osimbanga amayinja amanene, n'ogasiigako ennoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mumalanga okusomoka omugga Yoludaani n’oyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, oddiranga amayinja amanene n’ogategeka n’ogakubako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku lwe mulisomoka Yoludaani okuyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, mulyesimbira amayinja amanene ne mugasiigako ennoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku lwe mulisomoka Omugga Yorudaani, ne muyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, mulisimba amayinja amanene, ne mugasiigako ennoni,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale olulituuka ku lunaku olwo lwe mulisomoka Yoludaani okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, olyesimbira amayinja amanene, n'ogasiigako ennoni: