Deuteronomy 27:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Avumirirwe eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga anyoomodde obuliri bwa kitaawe. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Buli musajja asobya ku muka kitaawe, akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Buli musajja asobya ku muka kitaawe, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akolimirwe oyo asula ne mukazi wa kitaawe; kubanga abikkudde olukugiro lwa kitaawe. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina: