Deuteronomy 27:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Avumirirwe eyeebaka ne mwannyina, muwala wa kitaawe oba n'omubbeere we. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omusajja asobya ku mwannyina, omwana wa kitaawe oba owa nnyina akolimirwe.” Abantu bonnna baddemu nti Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Buli asobya ku mwannyina, omwana wa kitaawe oba owa nnyina, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akolimirwe oyo asula ne mwannyina, muwala wa kitaawe oba muwala wa nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.