Deuteronomy 27:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Avumirirwe attanga munne mu nkiso. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuntu yenna atemula muliraanwa we akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Buli atemulira omuntu mu nkukutu, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo,’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akolimirwe oyo akuba muliraanwa we mu kyama. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.