Deuteronomy 27:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Avumirirwe oyo atanywerera ku bigambo bya tteeka lino, n'atabituusa. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.” ’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Buli muntu yenna atakwata bigambo by'amateeka gano okubituukiriza akolimirwe.” Abantu bonna baddemu nti Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Buli atakuuma era atatuukiriza mateeka gano, akolimirwe.’ Abantu bonna baliddamu nti: ‘Kibeere bwe kityo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akolimirwe oyo atanyweza bigambo by’amateeka gano okubikolanga. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.