Deuteronomy 27:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Owandiikangako ebigambo byonna eby'etteeka lino, ng'omaze okusomoka Yorudani, n'oyingira mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, ng'Omukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogawandiikangako ebigambo bino byonna eby’amateeka, ng’omaze okusomoka, ng’oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, y’ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mulimala okusomoka, muliwandiika ku mayinja ago ebigambo byonna eby'amateeka gano, ne mulyoka muyingira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabasuubiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mugawandiikako ebigambo byonna eby'amateeka gano nga mumaze okusomoka, olwo ne mulyoka muyingira mu nsi engimu era engagga, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabasuubiza mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era oliwandiika ku go ebigambo byonna eby'amateeka gano, bw'olimala okusomoka; olyoke oyingire mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga Mukama, Katonda wa bajjajja bo, bwe yakusuubiza.