Deuteronomy 27:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'osomokanga Yorudani, osimbanga amayinja gano ku lusozi Ebali, nga bwe nkulagira olwa leero, ogasiiganga ennoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’otyo, bw’olimala okusomoka omugga Yoludaani, otegekanga amayinja ago ku Lusozi Ebali nga bwe mbalagira kaakano, era ogakubangako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mulisomoka Yoludaani, ne mulyoka musimba amayinja gano ge mbalagira leero, ku lusozi Ebali, ne mugasiigako ennoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nga mumaze okusomoka Omugga Yorudaani, mulisimba amayinja ago ku Lusozi Ebali, nga bwe mbalagira olwaleero, ne mugasiigako ennoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka bwe muliba nga musomose Yoludaani; ne mulyoka musimba amayinja gano, ge mbalagira leero, ku lusozi Ebali, n'ogasiigako ennoni.