Deuteronomy 27:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ozimbirangayo Omukama Katonda wo omwaliiro, omwaliiro ogw'amayinja. Tokozesanga ekintu eky'ekyuma ku go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Mukama Katonda wo olimuzimbira eyo ekyoto n’amayinja amalamba agatali matemeko na kyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mulizimbira Mukama Katonda wammwe, ekyoto eky'amayinja agatatemeddwa na kyuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo mulizimbirayo Mukama Katonda wammwe alutaari ey'amayinja ge mutayasizza na kyuma,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olizimbira eyo ekyoto kya Mukama Katonda wo, ekyoto eky'amayinja: togayimusangako kintu kya kyuma.