Deuteronomy 27:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ozimbanga omwaliiro gw'Omukama Katonda wo n'amayinja amalamba; okwo n'oweererezaako Omukama Katonda wo ebitambiro ebyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olizimbira eyo Mukama Katonda wo ekyoto n’amayinja amalamba n’oweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyoto kya Mukama Katonda wammwe munaakizimbyanga amayinja agatali mateme; era okwo kwe munaaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga alutaari ya Mukama Katonda wammwe, munaagizimbisanga mayinja gatali maase, era okwo kwe munaaweerangayo eri Mukama Katonda wammwe ebiweebwayo ebyokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyoto kya Mukama Katonda wo onookizimbyanga amayinja agatali mateme: era okwo kw'onooweeranga ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo: