Deuteronomy 27:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Yisirayeli yenna nti: “Yisirayeli, sirika era wulira: olwa leero Omukama akubaze ng'abantu b'Omukama Katonda wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ng’ali n’Abaleevi, bakabona, n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Sirika owulire ggwe Isirayiri! Ku lunaku lwa leero lwennyini ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Isiraeri yenna nti, “Musirike, muwulire, ggwe Isiraeri; leero ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa ng'ali wamu ne bakabona Abaleevi n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Musirike muwulire mmwe Abayisirayeli. Olwaleero mufuuse ggwanga lya Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Isiraeri yenna nti Musirike, muwulire, ggwe Isiraeri; leero ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.