Deuteronomy 28:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'oliwuliriza eddoboozi ly'Omukama Katonda wo, n'ofaayo okutuusa ebiragiro bye bye nkulagira olwa leero, Omukama Katonda agenda kukusukkulumya okire amawanga gonna agali ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onoogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo n'okugondera ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe munaanyiikiranga okuwulira Mukama Katonda wammwe, ne mukwatanga ebiragiro bye byonna bye mbawa olwaleero, era ne mubituukiriza, Mukama Katonda wammwe alibafuula ggwanga kkulu okusinga amawanga amalala gonna agali ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga, bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okubikolanga, Mukama Katonda wo anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi: