Deuteronomy 28:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama agenda kukujjuza ebirungi byonna: ezzadde ly'olubuto lwo, ezzadde ly'ensolo zo, ebibala by'ettaka lyo, mu nsi Omukama gye yalayirira bajjajjaabo okukuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde ery’enda yo, ne mu baana ab’ebisibo byo by’onoolundanga, ne mu bibala eby’omu ttaka lyo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaakuwanga ebirungi bingi, n'ozaala abaana bangi, n'ayaza ebisibo byo era n'ebirime byo, mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Mukama anaabawanga mmwe ebirungi bingi, ne muzaala abaana, ne muba n'ebisolo bingi, era ne mwaza ebibala mu ttaka lyammwe mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama anaakugaggawazanga olw'ebirungi, mu bibala by'omubiri gwo ne mu bibala by'ensolo zo ne mu bibala by'ettaka lyo; mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo okukuwa.