Deuteronomy 28:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Agenda kuggula eggulu, eggwanika ly'ebirungi bye, awe ettaka lyo enkuba mu budde bwayo, awe n'omukisa emirimu gyonna egy'emikono gyo. Onoowolanga amawanga mangi, naye ggwe nga tewali gwe weewolako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alikuggulirawo eggwanika lye ery’obugagga bwe ery’eggulu, n’atonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna ky’onookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako n’akatono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi ery'omu ggulu, n'atonnyesa enkuba mu biseera byayo, era n'akuwa omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola; era onoowolaga amawanga mangi naye nga ggwe tewewola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama anaabaggulirangawo etterekero lye ery'ebirungi, eggulu ne litonnyesanga mu nsi yammwe enkuba mu biseera byayo. Era byonna bye mukola anaabiwanga omukisa, ne muwolanga amawanga mangi, naye mmwe nga temwewola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi eggulu okugaba enkuba y'ensi yo mu budde bwayo, n'okuwa omukisa omulimu gwonna ogw'omukono gwo: era onoowolanga amawanga mangi; so teweewolanga.