Deuteronomy 28:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Towunjukanga ku bigambo bye nkulagira olwa leero n'odda ku ddyo oba ku kkono, n'ogoberera balubaale abagwira, n'obasinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ng’oleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, n’ogobereranga bakatonda abalala n’obaweerezanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tokyamanga mu kigambo kyonna okuva ku ebyo bye nkulagira leero, n'oweereza bakatonda abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temugezanga ne muwaba wadde okuwunjawunja okuva ku ebyo bye mbalagira olwaleero, ne musinzanga balubaale era ne mubaweerezanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'olema okukyamanga; okuva mu kigambo kyonna ku ebyo bye mbalagira leero, okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono, okugoberera bakatonda abalala okubaweereza: