Deuteronomy 28:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'oliba towulirizza ddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'otokwata na kutuusa biragiro bye byonna n'amateeka bye nkulagidde olwa leero, ebikolimo bino bigenda kukujjira bikugwire:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olunaatuukanga bw’otoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye, bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n'amateeka ge bye nkulagira leero; ebikolimo bino byonna birikujjira, era birikutuukako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye bwe mutaliwulira Mukama Katonda wammwe, kukwata mateeka ge na biragiro bye, bye mbawa olwaleero, ebikolimo bino byonna biribajjira ne bibabeerako:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olulituuka, bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n'amateeka ge bye nkulagira leero okubikola; ebikolimo bino byonna birikujjira, birikutuukako.