Deuteronomy 28:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezzadde ly'olubuto lwo lirivumirirwa, era n'ebibala by'ettaka lyo, n'obuyana bw'omu magana go, n'obuliga bw'omu bisibo byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana b’enda yo banaakolimirwanga, n’ekibala ky’ettaka lyo, n’ennyana z’amagana go, n’obwana bw’ebisibo byo byonna binaakolimirwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toozaalenga baana bangi, era n'ebikungulwa byo binaabanga bitono ddala; ebiraalo by'ente zo n'embuzi zo tebiiyalenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ezzadde lyammwe ne bye munaalimanga mu ttaka lyammwe, n'ebiraalo by'ente zammwe era n'amagana g'endiga n'embuzi zammwe, binaabanga bikolimire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibala by'omubiri gwo birikolimirwa, n'ebibala by'ettaka lyo, ezzadde ly'ente zo, n'abaana b'embuzi zo.