Deuteronomy 28:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama alikusindikira ebikolimo, okutabuka n'okuvumibwa mu mirimu gyonna egy'emikono gyo, okutuusa lw'alikusaanyaawo, okutuusa lw'alikuzikiriza amangu olw'ebikolwa byo ebibi bwe wamuvaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaakusindikiranga ebikolimo, n’okutabukatabuka, n’okunenyezebwa mu buli kintu kyonna ky’onoogezangako okukola, okutuusa lw’olizikirizibwa n’osaanawo mangu nnyo olw’ebikolwa byo ebibi, olwokubanga onoobanga omusenguse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onookolanga ebibi n'ova ku Mukama, anaakuleetangako ebikolimo, n'okulemwa, n'okunenyezebwa mu byonna by'onookolanga okutuusa lw'olizikirizibwa n'oggweerawo ddala mangu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe munaakolanga ebibi ne mweggya ku Mukama, Mukama anaabasindikiranga ekikolimo ne musoberwa era ne munenyezebwa mu byonna bye munaatuusangako engalo okukola, okutuusa lwe mulizikirizibwa ne muggwaawo mangu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaakusindikangako okukolimirwa n'okulemwa n'okunenyezebwa; mu byonna by'oteekako omukono gwo okukola, okutuusa lw'olizikirizibwa, n'okutuusa lw'olifaafaagana amangu; olw'obubi bw'ebikolwa byo ebyakunsengusa.