Deuteronomy 28:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo Omukama alikubonereza n'endwadde okutuusa lw'alikusaanyaawo ku nsi gy'ogenda okuyingira ogitwale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alikulwaza olumbe olutawona olw’olukonvuba, okutuusa lwe lulikumalawo mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogirye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaakuleetangako kawumpuli anaakumalirangawo ddala okuva mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okubeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaabasindikiranga kawumpuli n'abeesibako, okutuusa lwe watalisigalawo n'omu ku mmwe mu nsi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaakulwazanga kawumpuli yeegattenga naawe okutuusa lw'alikumalawo okuva ku nsi, gy'oyingiramu okugirya.