Deuteronomy 28:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alikubonereza n'endwadde ezikenenya, omusujja, ebizimba, olubabu lw'omusana, ekyeya, nnabbambula n'ebimera okugengewala ebirikubonyaabonya okutuusa lw'olizikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alikulwaza akafuba, n’omusujja n’okubugujja. Era alikusindikira ebbugumu eryokya ennyo, n’ekyeya, n’ekitala, n’okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw’olizikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaakuleetangako endwadde ezinaakukenenyanga, n'omusujja, n'okuzimba, n'okubabuukirirwa okungi. Era anaakusindikiranga entalo n'ekyeya n'okugengewala kw'ebirime. Ebyo byonna binaakulemerangako okutuusa lw'oliggweerawo ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama anaabalwazanga akafuba n'omusujja n'okuzimba, n'okubabuukirirwa okungi. Anaabasindikiranga entalo n'ekyeya n'okugengewala kw'ebirime. Ebyo byonna binaabeesibangako okutuusa lwe mulizikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaakukubanga akakono, n'omusujja, n'okuzimba, n'okwokya okungi, n'ekitala, n'okwonooneka, n'okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw'olizikirira.