Deuteronomy 28:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkuba y'omu nsi yo Omukama aligifuula nfuufu na lufufugge; eritonnya okuva ku ggulu okutuusa lw'olisaanawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alifuula enkuba y’omu nsi yo olufufugge, n’enfuufu yokka y’eneekuyiikiranga okuva waggulu mu bire, okutuusa lw’olizikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kifo ky'enkuba, Mukama anaasindikanga mbuyaga ya nfuufu n'omusenyu mu nsi yo, okutuusa lw'olizikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kifo ky'enkuba, Mukama anaasindikanga mbuyaga ya nfuufu n'omusenyu mu nsi yammwe, okutuusa lwe mulizikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaafuulanga enkuba ey'ensi yo okuba effufugge n'enfuufu: mu ggulu mw'enaavanga okukka ku ggwe, okutuusa lw'olizikirizibwa.