Deuteronomy 28:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alikuwaayo n'ofufuggazibwa mu maaso g'abalabe bo; olifulumira mu kkubo limu ng'obalumba, naye olikwata amakubo musanvu ng'obadduka; olifuuka ekyesisiwaza mu maaso g'obwakabaka bwonna obw'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaakulekeranga abalabe bo ne bakuwangulanga. Onoobalumbiranga mu kkubo limu, kyokka n’obadduka ng’obunye emiwabo mu makubo musanvu. Olifuuka kyakikangabwa mu maaso g’amawanga gonna ag’oku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe bo bwe banaakulumbanga Mukama anaakuvangamu ne bakuwangula; bw'onoofulumanga okubalumba okuva mu kkubo erimu on'oddukanga okuva mu maaso gaabwe mu makubo musanvu. Amawanga gonna ag'oku nsi, bwe ganaawuliranga ebikutuuseeko ganeewuunyanga, negatya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama anaabavangamu ne muwangulwa abalabe bammwe. Munaakwatanga ekkubo limu okugenda okubalumba, ne mubadduka nga mubunye emiwabo. Amawanga gonna ku nsi ganaalabanga ebibatuuseeko mmwe ne gatya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaakukubanga mu maaso g'abalabe bo: onoofulumanga okubatabaala mu kkubo limu, era onoddukanga mu makubo musanvu mu maaso gaabwe: era onooyuuganyizibwanga eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi: