Deuteronomy 28:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulambo gwo guliba mmere ya binyonyi byonna eby'omu bbanga n'ebisolo by'oku nsi; tewaliba abigobako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulambo gwo gulifuuka mmere ya nnyonyi zonna ez’omu bbanga, n’eri ensolo ez’oku nsi, era tewaabeerengawo n’omu anaazigugobangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onoofanga omulambo gwo gunaabanga kya kulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko; so tewaabengawo aziguŋŋumula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nga mufudde, ebinyonyi n'ebisolo binaalyanga emirambo gyammwe, ne wataba abigobawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulambo gwo gunaabanga kya kulya kya nnyonyi zonna ez'omu bbanga, era kya nsolo ez'oku nsi, so tewaabengawo aliziguŋŋumula.