Deuteronomy 28:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oliwammantanga mu ttuntu nga muzibe bw'awammanta mu nzikiza; amakubo go tegalikulamira. Jjo na luli olinyigirizibwa n'onyagibwa, naye tolifuna akudduukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ttuntu onoowammantanga ng’omuzibe w’amaaso abeera mu kizikiza obudde bwe bwonna. Buli ky’onookolanga onoolemwanga okukituukiriza; onoovumibwanga era onoobbibwanga buli kakedde, naye nga tewaabengawo akudduukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onoowammantanga mu ttuntu, ng'omuzibe w'amaaso bw'awammantira mu kizikiza, so toolabenga mukisa mu makubo go; onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo akulokola
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawammantanga mu ttuntu, nga muzibe bw'awammanta mu kizikiza, era temuubenga na mukisa mu bye mukola. Munaanyigirizibwanga era munaanyagibwangako ebyammwe buli kiseera, nga tewali abayamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era onoowammantanga mu ttuntu, ng'omuzibe w'amaaso bw'awammantira mu kizikiza; so toolabenga mukisa mu makubo go: era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo anaakulokola.