Deuteronomy 28:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oliyogereza omukazi, omulala ne yeebaka naye. Olizimba ennyumba n'otogisulamu. Olisimba ennimiro y'emizabbibu, naye ebibala byayo tolibirya nako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onooyogerezanga omukazi, n’osembereranga n’okumuwasa, naye omusajja omulala anaakumutwalangako n’asulanga naye. Oneezimbiranga ennyumba naye toogisulengamu. Oneesimbiranga ennimiro z’emizabbibu, naye toolyenga ku bibala byamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onooyogerezanga omukazi, omusajja omulala aneegattanga naye; bw'onozimbanga ennyumba, togisulengamu; era bw'onosimbanga olusuku lw'emizabbibu, toolyenga ku bibala byalwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Munaayogerezanga abakazi, abasajja abalala ne basobya ku bakazi abo. Munaazimbanga ennyumba ne mutazibeeramu. Munaasimbanga ennimiro z'emizabbibu, ne mutalya ku bibala byazo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onooyogerezanga omukazi, n'omulala anaasulanga naye: onoozimbanga ennyumba, so toobeerenga omwo: onoosimbanga olusuku lw'emizabbibu, so toolyenga bibala byalwo.