Deuteronomy 28:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ente yo eribaagirwa awo ng'olaba, n'otogirya nako. Endogoyi yo erikunyagibwako ng'olaba, n'etekuddizibwa. Endiga zo ziriweebwa abalabe bo, ne wataba aziwonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sseddume zo zinattirwanga mu maaso go, naye toolyenga ku nnyama zaazo. Endogoyi zo zinabbirwanga mu maaso go, so tebaazikuddizenga. Endiga zo zinaaweebwanga abalabe bo, ne watabaawo adduukirira okuzikuddiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ente yo enettibwanga nga olaba, naye toolyenga ku nnyama yaayo; endogoyi yo eneenyagibwanga ng'otunula, so tekuddizibwenga; n'endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, naye toobengako akuyamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ente zammwe zinattibwanga nga mulaba, ne mutalya ku nnyama yaazo. Endogoyi zammwe zinaanyagibwanga nga mutunula, ne zitabaddizibwa. Endiga zammwe zinaagabirwanga abalabe bammwe, mmwe ne wataba abayamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ente yo enettirwanga mu maaso go, so toogiryengako: endogoyi yo eneenyagibwanga lwa maanyi mu maaso go, so teekuddizibwenga: endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, so toobengako anaakulokolanga.