Deuteronomy 28:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani bo ne bawala bo baliweebwa eggwanga eddala, amaaso ne gakuyimbaala ng'otunula olunaku lwonna obalindirira, ate nga mu mukono gwo temuli na twanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani bo ne bawala bo banaagabibwanga mu baamawanga amalala ng’olaba; onoobanoonyanga buli lunaku okutuusa n’amaaso lwe ganaakumyukanga, naye nga tolina maanyi kubaako na kya kukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani bo ne bawala bo banaawambibwanga; onookandanga kutunula buli lunaku bakomewo, nga buteerere, naawe toobengako ky'oyinza kukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani bammwe ne bawala bammwe banaagabirwanga abagwira nga mulaba. Buli lunaku munaakandanga kutunula nga mwagala bakomewo, naye nga temulina kye muyinza kukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani bo ne bawala bo banaagabirwanga eggwanga eddala, era amaaso go ganaatunulanga ganaazibanga olw'okubeegomba okuzibya obudde: so tewaabengawo kintu ekinaabanga mu buyinza bw'omukono gwo.