Deuteronomy 28:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibala by'ettaka lyo na byonna bye wateganira abantu b'otomanyi bagenda kubirya; kimu kyokka ky'olifunayo: kunyigirizibwa na kubetentebwa ennaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’eggwanga ly’otomanyi banaalyanga ebibala by’ettaka lyo by’onoobanga weerimidde, toobengako na kya kukola wabula okutulugunyizibwanga buli kiseera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eggwanga ly'otomanyi lirirya ebikungulwa byonna eby'ettaka lyo byewateganira; era onoojoogebwanga, n'onyigirizibwanga ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'eggwanga eddala balirya emmere gye mwalima ku ttaka lyammwe n'ebirala byonna bye mwateganira, nga munyigirizibwa bunyigirizibwa era nga mujoogebwa bulijjo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibala by'ettaka lyo, n'emirimu gyo gyonna, eggwanga ly'otomanyi liribirya; era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoobetentebwanga ennaku zonna: