Deuteronomy 28:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alikubonereza ne kookolo atawona ku maviivi ne ku magulu, wenna alikujjula okuva ku bigere byo okutuuka mu kawompo ko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaakulwazanga amayute ku maviivi ne ku magulu, agataayinzenga kuwonyezebwa, era ne gasaasaananga okuva mu bigere okutuuka ku kawumpo k’omutwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaakulwazanga ku maviivi ne ku magulu amayute agatawonyezeka, ne gakubuna omubiri gwonna, okuva ku bigere okutuuka ku mutwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama anaabalwazanga ku maviivi ne ku magulu amayute agatawonyezeka, ne gababuna okuva ku bigere okutuuka ku mutwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaakulwazanga amaviivi n'amagulu ejjute ebbi, ly'otowonyezeka, okuva munda w'ekigere kyo okutuusa ku bwezinge bw'omutwe gwo.