Deuteronomy 28:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ggwe ne kabaka wo gw'oliba weerondedde akufuge Omukama alibatwala mu ggwanga lye mutamanyangako. Oliweerereza eyo balubaale ab'ebiti, n'amayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alikuleka, ggwe ne kabaka wo gw’onoobanga weerondedde n’otwalibwa mu ggwanga eddala ly’otowulirangako, ne bajjajjaabo lye bataamanya, n’oweererezanga eyo bakatonda abalala ab’emiti n’amayinja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaakuwaŋŋangusanga ggwe, ne kabaka wo gw'olyerondera okukufuga; n'akutwala mu ggwanga eddala, ggwe ne bajjajjaabo lye mutamanyangako, era onooweererezanga eyo ba katonda abalala, emiti n'amayinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe ne kabaka gwe munaabanga mutaddewo okubafuga, Mukama anaabatwalanga mu nsi engwira, mmwe ne bajjajjammwe gye mutabeerangamu, ne muweereza balubaale ababajje mu miti ne mu mayinja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anaakuleetanga ggwe ne kabaka gw'oliyimusa okukufuga, eri eggwanga ly'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala, emiti n'amayinja.